Nehemiah 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Sanuballati Omukoroni, Tobiya omukungu Omwammoni ne Gesemu Omuwarabu bwe baawulira, ne batusekerera, ne batugaya, ne bagamba nti: “Kiki kino kye mukola? Mujeemera kabaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sanubalaati Omukoloni, ne Tobiya omukungu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batunyooma n’okutusekerera ne batusekerera. Ne batubuuza nti, “Kiki kye mukola? Mwagala kujeemera kabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti, “Kigambo ki kino kye mukola? Mwagala okujeemera kabaka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Sanuballati Omuhoroni ne Tobiya omuweereza we Omwammoni, ne Gesemu Omuwarabu, bwe baawulira kye tutegeka okukola, ne batusekerera. Ne batugaya nga bagamba nti: “Mukola ki ekyo? Mwagala kujeemera kabaka?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? mwagala okujeemera kabaka?