Nehemiah 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbaanukula nga mbagamba nti: “Katonda w'eggulu ajja kutuwa birame; ffe tuli baweereza be, tujja kuzimba. Naye mmwe Yeruzaalemu temukirinaako mugabo, buyinza yadde ekijjukizo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbaddamu nti, “Katonda w’eggulu alituyamba okukituukiriza, era ffe abaddu be tulitandika okuzimba, naye mmwe temulina mugabo newaakubadde obusika newaakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti, “Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kye tuliva tugolokoka ne tuzimba; naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange ne mbaddamu nti: “Katonda w'Eggulu ajja kutuwa omukisa. N'olwekyo ffe abaweereza be, tujja kusituka tuzimbe. Naye mmwe, temulina mugabo na bwannannyini, wadde ekijjukizo mu Yerusaalemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.