Nehemiah 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ne ŋŋamba kabaka nti: “Kabaka awangaale emirembe gyonna! Lwaki sandinakuwadde ng'ekibuga ky'ebiggya bya bajjajjange kati matongo, n'emiryango gyakyo gyasaanyizibwawo omuliro?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abeere omulamu emirembe gyonna. Lwaki sinakuwala ng’ekibuga bajjajjange gye baaziikibwa kizise, nga ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abe omulamu emirembe gyonna! Kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala ng'ekibuga ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Natya nnyo era ne ŋŋamba kabaka nti: “Ayi kabaka, wangaala! Nnyinza ntya obutanakuwala ng'ekibuga omuli ebiggya bya bajjajjange kizise, nga n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋamba kabaka nti Kakaba abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?