Nehemiah 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne ŋŋamba kabaka nti: “Bwe kubeera nga kwe kusiima kwa kabaka, ng'omuweereza wo asanze ekisa mu maaso go, ntuma mu kibuga kya Yuda eri ebiggya bya bajjajjange, nkizimbe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oluvannyuma ne nziramu kabaka nti, “Kabaka bw’anasiima, era omuddu wo bw’anaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba kabaka nti: “Ayi Ssaabasajja, bw'oba ng'osiimye, era ng'okkirizza okumpa kye nsaba, nzikiriza ŋŋende mu Buyudaaya, mu kibuga omuli ebiggya bya bajjajjange, nkizimbe buggya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.