Nehemiah 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka, ne nnaabakyala yali amutudde awo, n'ambuuza nti: “Olugendo lunaakutwalira bbanga ki, ate olidda ddi?” Kabaka n'akkiriza okunsindika, nange ne mutegeeza ebbanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka, ne mukyala we ng’amuli ku lusegere, n’ambuuza nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku meka, era olidda ddi?” Kabaka n’asiima okuntuma, ne neegerera ekiseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'aŋŋamba, kaddulubaale naye nga atudde naye nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? Era olidda ddi?” Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka, ng'atudde wamu ne Nnaabagereka, n'ambuuza nti: “Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? Era olidda ddi?” Ne mmulaga ekiseera, n'akkiriza okuntuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'aŋŋamba, (kaddulubaale naye ng'atudde naye,) nti Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? era olidda ddi? Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera.