Nehemiah 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba kabaka nti: “Bwe kubeera nga kwe kusiima kwa kabaka, mpeebwe ebbaluwa nzitwalire abaamasaza Emitala w'Omugga, banzikirize okuyitawo, okutuusa lwe ndituuka mu Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nsaba kabaka nti, “Kabaka bw’anaasiima, awandiikire abaamasaza abali emitala w’omugga Fulaati ebbaluwa, ntambule mirembe okutuuka mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa ez'okutwalira abaamasaza abali emitala w'omugga, banzikirize bampiseemu okutuuka mu Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne mmusaba ampe ebbaluwa ez'okutwalira abafuzi b'ekitundu eky'emitala w'omugga, balyoke banzikirize okuyitawo okutuuka mu Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa eri abaamasaza abali emitala w'omugga, bampiseemu ntuuke mu Yuda;