Nehemiah 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nfune ebbaluwa okuva ewa Asafu akuuma ekibira kya Kabaka, ampe emiti, nsobole okuteeka emyango ku miryango gy'omunaala gw'Ekiggwa, ku lwa bbugwe w'ekibuga ne ku lw'ennyumba mwe ndisula.” Kabaka n'ampa, kubanga omukono gwa Katonda omulungi gwandiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era nsaba ebbaluwa gye nnaatwalira Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti gye ndikolamu embaawo ez’okubajjamu enzigi za yeekaalu, n’eza wankaaki wa bbugwe w’ekibuga, n’ekifo we nnaabeeranga.” Olw’omukono gwa Katonda wange ogwali nange, kabaka n’ampa bye namusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne nsaba n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndisulamu.” Kabaka n'ampa bye nnamusaba, olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne nsaba n'ebbaluwa ey'okutwalira Asafu, akuuma ekibira kya kabaka, emulagira okumpa emiti egy'okuggyamu embaawo ez'enzigi z'ekisenge ekyetoolodde Essinzizo, n'ez'ekisenge ekyetoolodde ekibuga, era n'ez'ennyumba gye ndisulamu. Kabaka n'ampa bye namusaba, kubanga Katonda wange yali wamu nange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndiyingira. Kabaka n'ampa olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze.