Nehemiah 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nzija eri abaamasaza Emitala w'Omugga, ne mbawa ebbaluwa kabaka gye yawandiika. Kabaka yali ansindise awamu n'abakulu mu ggye n'abeebagazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaga eri abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati ne mbakwasa ebbaluwa eziva ewa kabaka. Kabaka yampa abakungu b’eggye n’abeebagala embalaasi okumperekerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'atuma abakulu mu magye n'ekibinja ky'abeebagazi b'embalaasi okugenda nange. Ne ntuuka eri abafuzi abali emitala w'omugga, ne mbawa ebbaluwa za kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi.