Nehemiah 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliyasibu kabona omukulu ne banne bakabona ne bessa ku kuzimba Omulyango gw'Endiga, ne bagutukuza, ne bassaamu emyango, ne bawangamu enzigi, ppata n'ebisiba, okutuuka ku Munaala gw'Ekikumi, ne bagutukuza, n'okutuuka ku munaala Kananeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'asituka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, era ne basimba enzigi zaagwo; ne batukuza ekisenge okutuukira ddala ku munaala gwe kikumi (100), n'okutuukira ddala ku munaala ogwa Kananeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliyasibu Ssaabakabona, wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba Omulyango gw'Endiga, ne bagutukuza, era ne baguteekamu enzigi. Ne batukuza ekisenge okutuukira ddala ku munaala gw'Ekikumi, n'ogwa Hananeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'agolokoka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, ne basimba enzigi zaagwo; okutuuka ku kigo kya Kammeya kwe baakoma okugutukuza, okutuuka ku kigo kya Kananeri.