Nehemiah 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira Yedaaya mutabani wa Karumafu n'addaabirizaawo, kye kitundu ekyali kitunudde mu nnyumba ye; awamuddirira Kattusi mutabani wa Kasabuneeya n'addaabirizaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza, eyaddabiriza ekitundu ekitunudde mu ennyumba ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo yaddirirwa Yedaaya mutabani wa Harumafu, eyaddaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Hattusi mutabani wa Hasabuneya ye yaddako mu kuddaabiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba ye ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza.