Nehemiah 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kanuni n'ab'e Zanowa baddaabiriza Omulyango gw'Ekiwonvu; baaguzimba ne bawangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo, ne baddaabiriza n'emikono lukumi egya bbugwe okutuuka ku Mulyango gw'Olubungo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kanuni n'abatuuze b'e Zanowa ne baddabiriza omulyango ogw'omu kiwonvu; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, era ne baddabiriza n'ekisenge eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi (1,000) okutuuka ku mulyango ogw'obusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanuni n'abatuuze b'e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango gw'Ekiwonvu. Ne baguzimba buggya, ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu n'ebizisiba. Era ne baddaabiriza ekitundu ky'ekisenge kya mikono ebikumi bitaano okutuuka ku Mulyango gw'Ebisasiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulyango ogw'omu kiwonvu Kanuni n'abaali mu Zanowa be baaguddaabiriza; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, n'ekituli eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi okutuuka ku mulyango ogw'obusa.