Nehemiah 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malukiya mutabani wa Rekabu, omwami ow'eggombolola y'e Beti-Kakkeremu yazimba Omulyango gw'Olubungo, n'awangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu n'addabiriza omulyango gw'obusa; n'aguzimba n'aguteekamu enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malukiya mutabani wa Rekabu omufuzi w'e Beti Hakkeremu, n'addaabiriza Omulyango gw'Ebisasiro, n'aguzimba buggya n'aguteekamu enzigi n'ebisiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulyango ogw'obusa Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.