Nehemiah 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sallumu mutabani wa Koli-Koze, omwami w'eggombolola y'e Mizupa n'addaabiriza Omulyango gw'Oluzzi; yaguzimba n'agusereka, n'awangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo. Era yaddaabiriza n'ekisenge ky'Ekidiba kya Sela, okumpi n'ennimiro ya kabaka n'okutuukira ddala ku madaala, agaserengeta ng'ova mu Kibuga kya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa n'addabiriza omulyango gw'Oluzzi. Naguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, era n'azimba ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sallumu mutabani wa Koluhoze omufuzi we Mizupa, n'addaabiriza Omulyango gw'Oluzzi. N'aguzimba buggya, n'agusereka era n'agussaamu enzigi n'ebisiba. Era n'azimba ekisenge eky'oku kidiba kya Seela ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuukira ddala ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulyango ogw'oluzzi Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.