Nehemiah 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira Nekemiya mutabani wa Azubuku, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri ky'e Beti-Zuru yaddaabirizaawo okutuuka mu maaso g'Amasiro ga Dawudi, n'okutuuka ku kidiba ekisime, ne ku nnyumba y'Abazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nekkemiya mutabani wa Azubuki omufuzi w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza n'atuukira ddala ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi n'okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, ne ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nehemiya mutabani wa Azibuku omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'e Betizuuri, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako okutuukira ddala ku masiro ga Dawudi, ne ku kidiba ekisime, ne ku nsiisira z'abasajja ab'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nekkemiya mutabani wa Azubuki omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi nokutuuka ku kidiba ekyasimibwa n'okutuuka ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi.