Nehemiah 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, Abaleevi, nga bakulemberwa Rekumu mutabani wa Bani, baddaabirizaawo. Awabaddirira Kasabiya, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri kya Keyila, yaddaabirizaawo ku lw'eggombolola ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddabiriza ku lw'essaza lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi be baddirira Nehemiya okuddaabiriza: Rehumu mutabani wa Bani ye yasooka, n'addirirwa Hasabiya omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'e Keyila. Ono ye yaddaabiriza ku lw'ekitundu kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddaabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddaabiriza olw'essaza lye.