Nehemiah 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, bannansi bannaabwe nga bakulemberwa Bavvayi mutabani wa Kenadadi, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri kya Keyila, baddaabirizaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baganda baabwe, Bavvayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda baabwe nga bakulemberwa Bavvayi mutabani wa Henadaadi omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekirala eky'e Keyila.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baganda baabwe, Bawayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza.