Nehemiah 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awabaddirira Ezeri mutabani wa Yeswa afuga Mizupa yaddaabirizaawo, kye kitundu ekirala okuva mu maaso g'awambukirwa ku tterekero ly'ebyokulwanyisa okutuuka ku Nsonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w'e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'eby'okulwanyisa ku nsonda ya bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kuddako Ezeri mutabani wa Yeswa omufuzi w'e Mizupa. Ono yaddaabiriza ekitundu ekitunudde awaterekebwa ebyokulwanyisa, okutuukira ddala ku nsonda y'ekisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w’e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'ebyokulwanyisa (bbugwe) w'awetera.