Nehemiah 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira abasajja b'e Yeriko ne baddaabirizaawo; awabaddirira Zakkuri mutabani wa Yimuri n'addaabirizaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba, ate Zakkuli mutabani wa Imuli n'abaddirira okuzimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja b'e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddako, ate Zakkuri mutabani wa Yimuri, n'azimba ekitundu ekiddako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba. Era Zakkuli mutabani wa Imuli ye yabaddirira okuzimba.