Nehemiah 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira Baruku mutabani wa Zabbayi yaddaabirizaawo n'obunyiikivu; kye kitundu ekirala okuva ku Nsonda okutuuka ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu kabona omukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala, ng'anyiikira nnyo, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baruku mutabani wa Zabbayi ye yaddako, n'addaabiriza ekitundu ekirala okuva ku nsonda y'ekisenge okutuuka ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu Ssaabakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ng'anyiikira nnyo, okuva bbugwe w'awetera okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.