Nehemiah 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, Meremoti mutabani wa Wuriya mutabani wa Akkozi yaddaabirizaawo; kye kitundu ekyokubiri okuva ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu okutuuka ku nnyumba ya Eliyasibu w'ekoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Meremoosi mutabani wa Uliya era muzzukulu wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kuddako Meremooti mutabani wa Wuriya, era muzzukulu wa Hakkozi, eyaddaabiriza ekitundu okuva ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu.