Nehemiah 3:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awabaddirira, Benyamiini ne Kassubi baddaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba yaabwe; awabaddirira, Azariya mutabani wa Maaseeya, mutabani wa Ananiya, yaddaabiriza okumpi n'ennyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benyamiini ne Hassubu be baddako, ne baddaabiriza ekitundu ekiri mu maaso g'ennyumba zaabwe. Ne kuddako Azariya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya. Ono n'addaabiriza ekitundu ekiriraanye ennyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya mutabani wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye ye.