Nehemiah 3:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, Binnuyi mutabani wa Kenadadi yaddaabiriza ekitundu ekirala, okuva ku nnyumba ya Azariya okutuuka ku nsonda ne ku ntabiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kuddako Binnuyi mutabani wa Henadaadi, n'addaabiriza okuva ku nnyumba ya Azariya okutuuka ekisenge we kiwetera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka bbugwe w'awetera ne ku nsonda.