Nehemiah 3:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, Palali mutabani wa Wuzzayi yakola awatunudde mu nsonda ne mu Munaala ogusoolooba ku Lubiri olw'Engulu oluliraanye oluggya lw'Abakuumi. Awamuddirira, Padaaya mutabani wa Parosi
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'omunaala ogw'azimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Palali mutabani wa Wuzayi n'addaabiriza ekitundu okwolekera ekisenge we kiwetera, n'omunaala gw'ennyumba ya kabaka eya kalinaabiri, okumpi n'ennyumba y'abakuumi. Ne kuddako Pedaaya mutabani wa Parosi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'ekigo ekyazimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza.