Nehemiah 3:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abaweereza b'omu Kiggwa abaasulanga ku kasozi Ofeli baddaabirizaawo okutuuka awatunudde ku Mulyango gw'Amazzi okwolekera ebuvanjuba n'Omunaala ogusooloobye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abaweereza b'omu Yeekaalu abaabeeranga mu Oferi ne baddabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba, ne ku munaala omuwanvu ogwa kizimbibwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abaweereza b'omu Ssinzizo abaabeeranga mu kitundu ekiyitibwa Ofeli. Ne baddaabiriza okutuuka mu kifo ekitunudde mu Mulyango gw'Amazzi mu buvanjuba, ne ku munaala omuwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Era Abanesinimu baabanga mu Oferi okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba n'ekigo ekyazimbibwako.)