Nehemiah 3:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awabaddirira, ab'e Tekowa baddaabiriza ekitundu ekirala, okuva ku Munaala ogusooloobye okutuuka ku Kisenge kya Ofeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala ekyolekera omunaala omunene omuwanvu ogwa kizimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w'e Oferi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'e Tekowa ne baddako. Ne baddaabiriza ekitundu ekitunudde mu munaala omunene omuwanvu okutuuka ku kisenge kya Ofeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera ekigo ekinene ekyazimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.