Nehemiah 3:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awabaddirira, Zadoki mutabani wa Yimmeri yaddaabiriza mu maaso g'ennyumba ye; awamuddirira Semaaya mutabani wa Sekaniya, omuggazi w'Omulyango gw'Ebuvanjuba yaddaabirizaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona baddirirwa Zaddooki mutabani wa Yimmeri. Zaddooki n'addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w'Omulyango gw'Ebuvanjuba, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza.