Nehemiah 3:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, Ananiya mutabani wa Selemiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu owoomukaga baddaabiriza ekitundu ekirala. Awabaddirira, Mesullamu mutabani wa Berekiya yaddaabiriza mu maaso g'omuzigo gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be baamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo n'addirirwa Hananiya mutabani wa Selemiya ne Hanuni, omwana ow'omukaaga owa Zaalaafu. Ekyo kye kyali ekitundu kyabwe ekyokubiri kye baddaabiriza. Mesullamu mutabani wa Berekiya n'addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be bamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye.