Nehemiah 3:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamuddirira, Malukiya, ow'omu bafukusi ba zaabu, yaddaabiriza okutuuka ku nnyumba y'abaweereza b'omu Kiggwa n'ey'abasuubuzi mu maaso g'Omulyango gw'Abakebezi okutuuka ku kisenge ekya waggulu eky'Ensonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abaweereza b'omu Yeekaalu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kamifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda ya bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malukiya, omu ku baweesi ba zaabu, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako okutuuka ku nnyumba y'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'ey'abasuubuzi, ezitunudde mu Mulyango gwa Mifukaadi okumpi n'omunaala ogw'omu nsonda y'ekisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abanesinimu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kammifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda.