Nehemiah 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awabaddirira Meremoti mutabani wa Wuriya mutabani wa Akkozi n'addaabirizaawo. Awamuddirira Mesullamu mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezabeli n'addaabirizaawo; awamuddirira Zadoki mutabani wa Baana n'addaabirizaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya muzzukulu wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Meremooti mutabani wa Wuriya era muzzukulu wa Hakkozi, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako. Oyo n'addirirwa Mesullamu, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Mesezabeli. Abo ne baddirirwa Zaddooki, mutabani wa Baana, okuddaabiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza.