Nehemiah 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada mutabani wa Pasewa ne Mesullamu mutabani wa Besodeeya ne baddaabiriza Omulyango Omukadde, ne bassaamu emyango, ne bawangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekamu emyango gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoyaada mutabani wa Paseya, ne Mesullamu mutabani wa Besodeeya, ne baddaabiriza Omulyango ogw'Edda. Ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu, n'ebisiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.