Nehemiah 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awabaddirira Melatiya ow'e Gibewoni ne Yadoni Omumeronoti, abasajja b'e Gibewoni n'e Mizupa abaali batwalibwa owessaza Emitala w'Omugga, ne baddaabirizaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Melatiya Omugibiyoni ne Yadoni Omumeronooti, n'abasajja ab'e Gibiyoni ne Mizupa, abafugibwa omufuzi omukulu ow'emitala w'omugga, be baddako mu kuddaabiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza.