Nehemiah 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku olwo, ekitundu ekyokubiri eky'abakozi bange ne basigala ku mulimu, ate ekyokubiri ekirala nga bakutte amafumu, engabo, obusaale n'ebizibawo. Abakulembeze bonna ne baba mabega w'abantu bonna aba Yuda
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kyekimu abantu b’e Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yuda n'ayogera nti, “Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gakendedde so nga wakyaliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza tetukyayinza kuzimba bbugwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu b'omu Buyudaaya ne batandika okugamba nti: “Abasitula obuzito amaanyi gabakendedde, ebisasiro bikyetuumye! Kale tetukyayinza kuzimba kisenge kati!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'ayogera nti Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gaweddewo era waliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza ne tutayinza kuzimba bbugwe.