Nehemiah 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abaali bazimba ekigo. Abaakolanga ogw'obwetissi omulimu baagukozesanga omukono ogumu, omulala nga gukutte ekyokulwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe baffe ne bateesa nga boogera nti, “Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tubalesaayo omulimu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abalabe baffe baalowooza nti tetujja kumanya kye bateesezza, wadde okubalaba nga bajja, okutuusa nga batuguddeko ne batutta, n'omulimu gw'okuzimba ne gukoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalabe baffe ne boogera nti Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tulekesaayo omulimu.