Nehemiah 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazimbi nabo baazimbanga buli omu ng'alina ekitala ku lukugunyu. Kyokka ye eyafuuwanga eŋŋombe yasigalanga we ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Abayudaaya abaabeeranga okumpi nabo, ne bajja, ne batugamba emirundi kkumi nti, “Okuva mu bifo byonna gye babeera bajja kutulumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya abaabeeranga okumpi nabo, bwe bajja, ne batubuulira emirundi n'emirundi nti: “Bajja kuva mu bifo byonna gye babeera, bajje batulumbe”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Abayudaaya abaabaliraana bwe bajja, ne batugamba emirundi kkumi nga bayima mu bifo byonna nti Kibagwanira okudda gye tuli.