Nehemiah 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba abakungu, abalamuzi n'abantu abalala bonna nti: “Omulimu munene ate mugazi, ku bbugwe buli omu asuulaganye ne munne;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, n’amafumu n’emitego n’obusaale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye nnava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali emabega wa bbugwe, buli awaali watannaggwa, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava nteeka abantu emabega w'ekisenge buli awaali watannaggwa, nga batereezeddwa mu bika byabwe, era nga balina ebitala n'amafumu n'emitego gy'obusaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali ennyuma wa bbugwe, mu mpungu, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe.