Nehemiah 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekifo we munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, mwenna mudduke mulage eyo. Katonda waffe ajja kutulwanirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ntunula ne nsituka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti, “Temubatya, mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba abantu nga beeraliikiridde. Kyennava ŋŋamba abakulembeze baabwe n'abakungu, n'abantu bonna nti: “Muleme kutya balabe baffe. Mujjukire nti Mukama mukulu, era wa ntiisa! Mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe ne bawala bammwe, ne bakazi bammwe, era n'ennyumba zammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntunula ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu, n'abantu abalala nti Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.