Nehemiah 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne twongera bwe tutyo omulimu mu maaso; ekyokubiri kyaffe nga bakutte amafumu okuva ku mmambya ng'asala okutuusa emmunyeenye okuvaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira ng'olukwe lwabwe tulutegedde, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe baffe ne bamanya ng'olukwe lwabwe tulutegedde, era nga Katonda alemesezza enteekateeka zaabwe. Awo ffenna ne tulyoka tudda ku mulimu gw'okuzimba ekisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira nga kimanyiddwa gye tuli, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.