Nehemiah 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo nagamba abantu nti: “Buli omu asule n'omuweereza we mu Yeruzaalemu; ekiro batukolere ogw'okukuuma, emisana bakole.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga n’ekitundu ekirala nga bakutte amafumu, n’engabo, n’obusaale n’ebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogw'okuzimba, n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma. Abakulu ne babanga emabega w'ennyumba yonna eya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva olwo abantu bange, kimu kyakubiri, be baazimbanga ekisenge, ate kimu kyakubiri, ne bambalanga ebyambalo eby'ekyuma, ne bakwata amafumu n'engabo, n'emitego gy'obusaale. Abakulembeze ne bawagira abantu ba Buyudaaya bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogwo n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma; abakulu ne babanga ennyuma w'ennyumba yonna eya Yuda.