Nehemiah 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze, baganda bange, basajja bange n'abakuumi bange nga tetweyambula; buli omu ng'abeera n'ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abeetikkanga, baasitulanga n’omukono gumu eby’okuzimbisa n’omulala ne gukwata ekyokulwanyisa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, naye nga buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogwokubiri nga gukutte eky'okulwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaazimbanga ekisenge era n'abo abeetikkanga eby'okuzimbisa, baakozesanga omukono gumu, ate omulala nga gukutte ekyokulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogw'okubiri nga gukutte ekyekulwanyisa kye;