Nehemiah 4:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ŋŋamba abakungu n’abakulu n’abantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti, “Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, ng'omu ali wala ne munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba abakungu n'abakulembeze n'abalala nti: “Omulimu munene era mugazi, naffe twesudde amabanga manene okuva ku buli muntu, ng'omu ali wala ne munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, omu ng'amuli wala munne: