Nehemiah 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne beekoba bajje balwanyise Yeruzaalemu, bakireetemu okutabukatabuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya n’ayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu z’ebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti, “Abayudaaya bano abanafu bakola ki? Baagala okwekomera? Baagala okuwaayo ssaddaaka? Baagala okumalira ku lunaku lumu? Baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ayogerera mu maaso ga baganda be n'ab'eggye lya Samariya nti: “Abayudaaya abo abateesobola bakola ki? Baneezimbirawo ekigo? Banaawaayo ebitambiro? Omulimu banaagumala mu lunaku lumu? Amayinja agoonooneddwa omuliro, ge baggya mu ntuumu z'ebisasiro, banaasobola okugafuula amalamu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti Abayudaaya bano abanafu bakola ki? baagala okwekomera? baagala okuwaayo ssaddaaka? baagala okumalira ku lunaku lumu? baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa?