Nehemiah 4:22 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu n’oyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti, “Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi baffe ekiro, era bakolenga omulimu emisana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, era ne ŋŋamba abantu nti: “Buli muntu wamu n'omuweereza we, asigale mu Yerusaalemu, batukuume ekiro, era bakole omulimu emisana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi gye tuli ekiro, era bakolenga omulimu emisana.