Nehemiah 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne tusaba ewa Katonda waffe, ne tussaawo omukuumi emisana n'ekiro okubeekuuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, n’ayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti, “N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tobiya Omwammoni eyamuli ku lusegere n'agamba nti: “Ekyo ekisenge kyabwe eky'amayinja kye bazimba, n'ekibe bwe kikiyimirirako, kikisuula wansi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja.