Nehemiah 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalabe baffe ne bagamba nti: “Baliba tebannamanya na kutulaba, ffe nga tubaguddemu, nga tubatta, omulimu nga tugukomya awo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso g’abazimbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go; kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tobasonyiwa kwonoona kwabwe era teweerabira kibi kyabwe, kubanga bakusunguwalizza mu maaso g'abazimbi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go: kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi.