Nehemiah 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya abaali basula okumpi nabo ne bajja batugamba emirundi kkumi miramba nti: “Bajja kuva mu bifo wonna gye babeera batulumbe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne tweyongerayo n’okuzimba bbugwe okutuuka wakati w’obugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga n’obumalirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa lwe yenkanankana obugulumivu, kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tweyongera okuzimba ekisenge, ne tukyetoolooza wonna, ate okugenda waggulu ne tukituusa mu makkati mu kiseera kitono, kubanga abantu baali bakola baagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa we yenkana obugulumivu: kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu.