Nehemiah 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze kwe kuteeka abasajja abamu wansi ku bbugwe mu bifo ebyereere, nga mbatereezezza mu ndyo zaabwe, nga balina ebitala byabwe, amafumu gaabwe n'obusaale bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sanubalaati, ne Tobiya, n’Abawalabu, n’Abamoni, n’Abasudodi bwe baawulira ng’omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise n’okuziba ebituli, ne banyiiga nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n'Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera mu maaso, era ng'ebituli bitandise okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Sanuballati, ne Tobiya, n'Abawarabu, n'Abammoni, n'Abasudoodi bwe baawulira nti omulimu gw'okuzimba ekisenge kya Yerusaalemu gugenda mu maaso era nga n'ebituli bitandise okuzibibwa, ne basunguwala nnyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n’Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera, era ng'ebituli bitanudde okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo;