Nehemiah 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nekkaanya, ne nsituka, ne ŋŋamba abakungu, abalamuzi n'abantu abalala bonna nti: “Muleke kubatya. Mujjukire Omukama omukulu, ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe, batabani bammwe, bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi n’okugitabulatabula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ne bakkaanya bonna wamu okulumba ekibuga Yerusaalemu okukirwanyisa n'okukitabangula,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza.