Nehemiah 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe baffe ne bamanya nga tutegeezeddwako, ne Katonda ng'agootaanyizza entegeka zaabwe, ffe ne tudda ku kigo, buli omu ku mulimu gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo n’abakuumi abaakuumanga emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne tusaba Katonda waffe, era ne tussaawo abakuumi okutukuuma emisana n'ekiro baleme okutukola akabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye ne tusaba Katonda waffe era ne tussaawo abakuumi okuziyiza abalabe abo emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne tusaba okusaba kwaffe eri Katonda waffe ne tussaawo abakuumi eri bo emisana n'ekiro ku lwabwe.