Nehemiah 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze, baganda bange, n'abaweereza bange twabawola ssente n'eŋŋano; tukomye eky'okuliika kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi n’emmere ey’empeke, naye ekigambo ky’okuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nange bwe ntyo ne baganda bange n'abaddu bange tubadde tuwola effeeza n'eŋŋaano olw'amagoba. Mbeegayiridde, tuleke amagoba ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange mbadde mpola abantu ssente n'eŋŋaano, era nga ne baganda bange n'abaweereza bange nabo bakikola. Kati mbeegayiridde, tubasonyiwe amagoba ago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange bwe ntyo baganda n'abaddu bange mbawola effeeza n'eŋŋaano olw'amagoba. Mbeegayiridde, tuleke amagoba ago.