Nehemiah 5:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baddamu nti: “Tujja kubizzaayo, era tetujja kwongera kubasaba kantu; tujja kukola tutyo nga bw'ogambye.” Ne mpita bakabona, ne ndayiza abakulembeze n'abakungu bakole nga bwe basuubizizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bw’olagidde.” Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu n’abakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne boogera nti, “Tunaabizza, so tetulibasalira kintu, bwe tutyo tunaakola nga bw'oyogera.” Awo ne mpita bakabona, ne mbalayiza nga banaakolanga bwe basuubizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulembeze ne baddamu nti: “Tujja kukola nga bw'otugambye. Tujja kubaddiza ebintu byabwe byonna, era tubasonyiwe n'amabanja gonna ge tubabanja.” Ne mpita bakabona, ne ndayiza abakulembeze n'abakungu okukola nga bwe basuubizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne boogera nti Tunaabizza, so tetulibasalira kintu; bwe tutyo bwe tunaakola nga bw'oyogera. Awo ne mpita bakabona ne mbalayiza nga banaakola nga bwe basuubizza.